Malachi 2:14-16

14 aKale mubuuza nti, “Lwaki tabifaako?” Kubanga Mukama yali mujulirwa wakati wo ne mukazi wo ow’omu buvubuka bwo, naye ggwe tewali mwesigwa, ng’olimbalimba newaakubadde nga yali munno era mukazi wo gwe walagaana naye endagaano.

15 bKatonda teyabafuula omu mu mwoyo? Era lwaki yabafuula omu? Kubanga yali anoonya ezzadde eriritya Katonda. Kale mwekuume nnyo waleme kubaawo agoba mukazi we, era alimbalimba mukazi we ow’omu buvubuka bwe.

16 c“Kubanga nkyawa abafumbo okwawukana,” bw’ayogera Mukama Katonda wa Isirayiri, “n’omusajja ajooga mukazi we,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye.

Kale mwekuumenga mu mwoyo gwammwe mubeerenga beesigwa.

Copyright information for LugEEEE